Leviticus 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo kabona anaayokyanga ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo ekivudde ku mpeke ensekule ne ku muzigo n'abyokya wamu n'obubaani bwonna; kye kitone ekiwongere Omukama n'omuliro.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekimaze okubetentebwa nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni n’obubaane, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya; ekyo nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano embetente, n'ekitundu ky'amafuta, wamu n'omugavu gwakyo gwonna; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaayokyanga ekitundu ky'eŋŋaano, n'eky'omuzigo, wamu n'obubaane bwonna, nga ke kabonero akalaga nti biweereddwayo. Kye kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabona anaayokyanga ekijjukizo kyakyo, ekitundu ky'eŋŋano yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omugavu gwakyo gwonna:kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.