Leviticus 2:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekinaafikkangawo ku kitone eky'obuwunga, kinaabanga kya Aroni ne batabani be, ekitundu ekitukuvu ennyo ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obuwunga obunaasigalangawo ku kiweebwayo, bunaatwalibwanga Alooni ne batabani be, nga kye kitundu ekitukuvu ennyo eky’ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be; kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo ekisigaddewo ku kitone eky'obuwunga, kinaabeeranga kya bakabona. Kintu kitukuvu nnyo, kubanga kitooleddwa ku kitone ekiweebwayo eri Mukama okwokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.