Leviticus 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Otwalanga ew'Omukama ekitone eky'obuwunga ekikoleddwa mu ebyo, n'okikwasa kabona, ye n'akiteeka ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooleeteranga Mukama ekiweebwayo ekyo eky’emmere ey’empeke ekitabuddwa mu bintu ebyo; bwe kinaakwasibwanga kabona, ye anaakireetanga ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo onooleetanga ekiweebwayo ekyo eky'obutta eri Mukama; ne kabona anaakitwalanga ku kyoto.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onooleetanga eri Mukama ekitone ekikoleddwa mu ebyo, n'okireetera kabona, ye n'akitwala ku alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto.