Leviticus 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Atoolanga ku kitone n'aggyako ekitundu kyakyo eky'ekijjukizo n'akyokera ku mwaliiro, ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabona anaggyanga ku kiweebwayo eky’emmere ey’empeke, ekitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona anaatoolanga ku kiweebwayo eky'obutta ng'ekijjukizo; n'akyokera ku kyoto okuba ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaatoolangako ekitundu kyakyo, kibe akabonero akalaga nti kiweereddwayo eri Mukama, n'akyokera ku alutaari. Evvumbe ly'ekiweebwayo ekyo ekyokebwa, lisanyusa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.