Leviticus 20:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja awasanga omuwala ate n'akubirako ne nnyina w'omuwala abeera akoze kya bugwenyufu. Bonsatule babookyanga omuliro mu mmwe muleme kubeeramu bugwenyufu buno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusajja bw’anaawasanga omukazi ate n’atwalirako ne nnyina, ekyo kya kivve. Ye n’abakazi bombi banaayokebwanga mu muliro, bwe mutyo ekyonoono ekyo ne mukyegobako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kivve; bonsatule banaayokebwanga omuliro; temukkirizanga kibi ng'ekyo kubeera mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja bw'awasanga omukazi ne nnyina w'omukazi oyo, ekyo kya kivve. Abasatu abo banaayokebwanga omuliro ne bafa. Era temukkirizenga ekibi ng'ekyo okubeera mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kibi: banaayokebwanga omuliro ye nabo; muleme okuba ekibi mu mmwe.