Leviticus 20:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja awasanga mwannyina, kwe kugamba, muwala wa kitaawe oba wa nnyina, ne beebaka bombi, kiriba kya nsonyi; battirwanga mu maaso ga bantu baabwe, kubanga omusajja yeebase ne mwannyina; aneetikkanga omusango gw'ekyonoono kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusajja bw’anaawasanga mwannyina, oba nga mwanamuwala wa kitaawe, oba nga mwanamuwala wa nnyina, ne beebaka bombi, kinaabanga kya buwemu. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo. Kubanga omusajja oyo anaabanga aweebudde mwannyina, era y’aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwonna olw’ekibi ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba wa nnyina, banaabanga bakoze eky'obuwemu; banaabolebwanga okuva mu bantu baabwe, era omusajja oyo eyeegatta ne mwannyina anaavunaanibwanga olw'ekibi ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe oba owa nnyina, banaabanga bakoze kya buwemu. Banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe. Omusajja oyo anaabanga yeebase ne mwannyina, era anaavunaanibwanga olw'ekibi kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina, n’alaba ensonyi ze, naye n'alaba ensonyi ze; kye kigambo eky'obuwemu; era banaazikirizibwanga mu maaso g'abaana b'abantu baabwe: ng'abikudde ku nsonyi za mwannyina; anaabangako obutali butuukirivu bwe.