Leviticus 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omusajja eyeebakanga n'omukazi mu biseera bye eby'omwezi, anaabanga abikkudde ensulo ye, n'omukazi anaabanga abikkudde ensulo y'omusaayi gwe; bombi ba kukutulwanga ku bantu baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusajja bw’aneebakanga n’omukazi mu biseera by’omukazi, ebya buli mwezi ng’empisa y’abakazi bw’eba, anaabanga abikudde ensulo y’omusaayi gw’omukazi oyo, era n’omukazi anaabanga yeebikudde. Bombi banaagobwanga mu bannaabwe ne babagaana okukolagananga nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bw'aneegattanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaabolebwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja bw'aneebakanga n'omukazi ali mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi, bombi banaagobwanga mu kibiina ky'abantu baabwe, kubanga bamenye amateeka agakwata ku bulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja bw'anaasulanga n'omukazi aliko endwadde ye, n'abikkula ku nsonyi ze; ng'afudde obwereere ensulo ye, naye ng'abikudde ku nsulo y'omusaayi gwe: awo bombi banaazikirizibwanga okuggibwa mu bantu baabwe.