Leviticus 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Teweebakanga ne nnyoko omuto oba ssengaawo; akola ekyo abeera aweebudde ab'oluganda lwe; bombi baneetikkanga omusango gw'ekyonoono kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Teweebakanga na mukazi muganda wa nnyoko oba ne mwannyina wa kitaawo n’okola naye eby’ensonyi, kubanga ekyo kiweebuula owooluganda ow’okumpi. Mwembi munaavunaanyizibwanga olw’ekyonoono kyammwe ekyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teweegattanga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Teweebakenga na nnyoko omuto oba ne ssengaawo. Abakola ekyo baba bakoze kya kivve. Banaavunaanibwanga olw'ekibi kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko; newakubadde eza mwannyina kitaawo: kubanga afudde obwereere ow'obuko: banaabangako obutali butuukirivu bwabwe.