Leviticus 20:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: “ ‘Omu ku Bayisirayeli, oba ku bagwira abali mu Yisirayeli, bw'akwatanga omu ku baana be, n'amuwa Moleki, wa kuttibwanga; abantu ab'omu nsi bamussanga mayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri bw’oti nti, Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga atuula mu Isirayiri, bw’anaawangayo omwana we ng’ekiweebwayo eri Moleki, kitaawe w’omwana oyo ajjanga kuttibwa. Abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera banaamukubanga amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna mu Baisiraeri, oba mu bannamawanga abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, anattibwanga abantu bonna nga bamukuba amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ategeeze Abayisirayeli nti: “Bwe wanaabangawo Omuyisirayeli oba omugwira abeera mu mmwe awaayo ku baana be eri lubaale Moleki, ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki: talemanga kuttibwa: abantu ab'omu nsi banaamukubanga amayinja.