Leviticus 20:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli awasanga muka muganda we anaabanga akoze kya bugwagwa era ng'aweebudde muganda we; tebaliba na baana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusajja bw’anaawasanga muka muganda we, kinaabanga ekikolwa ekitali kirongoofu, kubanga aweebudde muganda we. Tebalizaala baana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja bw'aneegattanga ne muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we, era baliba bagumba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era omusajja bw'anaawasanga muka muganda we, anaabanga akoze kibi, ng'aswazizza muganda we. Tebaliba na baana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja bw'anaawasanga mukazi wa muganda we, bwe butali bulongoofu: ng'abikudde ku nsonyi za muganda we; tebaliba na baana.