Leviticus 20:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mukwatenga amateeka gange gonna n'ennamula yange yonna; mubituusenga, ensi gye mugenda okuyingira, egenda okuba eyammwe, ereme kubasesema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kale nno, mukwatenga amateeka gange gonna n’ebiragiro byange byonna, era mubikolerengako, ensi mwe mbatwala okutuulanga eryoke ereme kubasesema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'ebiragiro byange byonna ne mubituukirizanga; ensi gye mbatwala okubeeramu ereme okubagaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukuumenga amateeka gange n'ebiragiro byange byonna, ensi y'e Kanaani gye ŋŋenda okubayingizaamu okubeerangamu ereme kubagaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingizaamu okutuula omwo, eremenga okubasesemera ddala.