Leviticus 20:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temugobereranga mpisa z'amawanga ge ŋŋenda okugobawo mu maaso gammwe, kubanga byonna ebyo gaabikola, ne ngatamwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temugobereranga mpisa ez’amawanga ge ŋŋenda ngoba mu nsi eyo; kubanga baakola ebintu ebyo byonna, noolwekyo mbakyawa nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe; kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyennava mbakyawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuugobererenga mpisa za bantu abo be ngobamu okuleetamu mmwe. Kubanga baakolanga ebyo byonna, kyennava mbakyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe: kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyenvudde mbakyawa.