Leviticus 20:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe nabagamba nti: “Mmwe mulitwala ensi yaabwe; ndigibawa ebeere yammwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.” “ ‘Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga amalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nabategeeza nti, “Mulisikira ensi yaabwe, era ndigibawa ne mugirya, ye nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Nze Mukama Katonda wammwe eyabaawula ku mawanga amalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe n'abagamba nti, ‘Mulisikira ensi yaabwe, ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.’ Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe nabasuubiza okubawa ensi eno engagga era engimu, era ndigibawa n'eba yammwe. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nabagamba mmwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nange ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.