Leviticus 20:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omukazi oba omusajja aliko omulaguzi, oba asamirira emizimu, wa kuttibwanga; wa kuttisanga mayinja; omusaayi gwabwe gunaabeeranga ku mitwe gyabwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusajja oba omukazi mu mmwe anaabeeranga omusamize oba omulogo, wa kuttibwanga. Mubakubanga amayinja; era omusaayi gwabwe gunaabanga ku mitwe gyabwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, banaakubibwanga amayinja ne bafa, be banaabanga bereeseeko bokka okuttibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omusajja oba omukazi omusamize, oba omulogo, anattibwanga. Anaakubibwanga amayinja n'attibwa. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, talemanga kuttibwa; banaabakubanga amayinja: omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.