Leviticus 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange ndimwefuulira ne mukutula okuva ku bantu be, kubanga yaddira omu ku baana be n'amuwa Moleki, bw'atyo n'avvoola ekitukuvu kyange, n'ayonoona n'erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nange kennyini, omuntu oyo nnaamunyiigiranga, era nnaamugobanga ne mmugaana okukolagananga ne banne, kubanga awaddeyo omu ku baana be ng’ekiweebwayo eri Moleki, n’ayonoona Awatukuvu wange era n’avumisa erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nange naamusunguwaliranga ne muboola okuva mu bantu bange; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, naayonoonyesa awatukuvu wange, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nange ndyefuulira omuntu oyo ne mmuboola, ne ssongera kumubalira mu bantu bange, kubanga awaddeyo ku baana be eri Moleki, n'ayonoona Ekifo kyange Ekitukuvu, n'avumisa erinnya lyange ettukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nange naamwolekezanga amaaso gange omuntu oyo, ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, okwonoona awatukuvu wange, n'okuvumisa erinnya lyange ettukuvu.