Leviticus 20:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu mu nsi bwe baliraba ng'omuntu ono awa Moleki omu ku baana be naye ne bakibikkirira, ne batamutta,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu ab’omu kitundu ekyo mw’abeera, bwe banaamuzibiranga ku liiso, omuntu oyo awaddeyo omwana we eri Moleki, ne batamutta,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ab'omu nsi bwe bataafengayo ku kibi ky'omuntu oyo awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki ne batamutta,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekibiina ky'abantu bwe kitaafengayo ku ky'akoze, ne kitamutta,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu ab'omu nsi bwe banaakisanga n'akatono amaaso gaabwe omuntu oyo, bw'anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, ne batamutta: