Leviticus 20:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ŋŋenda kwefuulira omuntu oyo n'ekika kye; ye na bonna abassa ekimu naye ne bakola obwamalaaya ne Moleki, ndibakutula ku bantu baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuntu oyo nnaamunyiigiranga, ne ku b’omu nnyumba ye, ne mbagoba ne mbagaana okukolagananga ne bannaabwe, ye ne banne abakolaganye naye mu kukuba obwamalaaya ne Moleki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze, nze nnyini naamusunguwaliranga, ye n'ab'omu nnyumba ye, ne bonna abamwegattako okusinza Moleki ne mbaboola okuva mu bantu bange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze nzennyini ndikyukira omuntu oyo n'ab'omu nnyumba ye bonna, n'abo bonna abamwegattako mu butaba beesigwa gye ndi, ne basinza Moleki. Siryongera kubabalira mu bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne baganda be, ne mmuzikiriza ye n'abo bonna abamugoberera okwenda, okwenda ne Moleki, okubaggya mu bantu baabwe.