Leviticus 20:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omuntu avumiriranga kitaawe ne nnyina, wa kuttibwanga; avumye kitaawe ne nnyina; omusaayi gwe gunaabeeranga ku mutwe gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu yenna anaakolimiranga kitaawe oba nnyina wa kuttibwanga. Noolwekyo akolimidde kitaawe oba nnyina, omusaayi gwe gunaabanga ku mutwe gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina anattibwanga, anaabanga yeeleetedde yekka okuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli akolimira kitaawe oba nnyina, anattibwanga. Ye anaabanga yeereetedde yekka okuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa: ng'akolimidde kitaawe oba nnyina; omusaayi gwe gunaabanga ku ye.