Leviticus 21:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yagamba Musa nti: “Yogera eri bakabona batabani ba Aroni obagambe nti: ‘Kabona yeewalanga obutaba mulongoofu olw'omu ku bantu be afudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu yenna ku bo, eyeeyonoona ng'akoma ku w'oluganda lwe afudde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Yogera ne bakabona, batabani ba Arooni, obagambe nti tewaabengawo n'omu ku bo aneefuulanga atali mulongoofu nga yeetaba mu mikolo egibaawo mu kufiirwa ab'eŋŋanda ze,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Yogera ne bakabona batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abaafa ku bantu be;