Leviticus 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kabona omukulu, oyo mu baganda be eyayiibwako omuzigo ogusiiga ku mutwe, n'aweebwa obwakabona, okwambala ebyambalo ebitukuvu, tasasamazanga nviiri ze; tayuzanga byambalo bye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu, eyafukibwako amafuta, n'ayawulibwa okwambala ebyambalo by'obwa kabona, tasumululenga nviiri ze, so taayuzenga byambalo bye olw'okukungubaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ssaabakabona yafukibwako omuzigo ku mutwe gwe, n'atukuzibwa okwambalanga ebyambalo eby'obwakabona. N'olwekyo taalekenga nviiri ze nga si nsanirire, era taayuzenga byambalo bye, okulaga nti anakuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu mu baganda be, afukibwako ku mutwe amafuta agafukibwako, era ayawulibwa okwambala ebyambalo ebyo, tasumululanga nviiri za ku mutwe gwe, so tayuzanga ngoye ze;