Leviticus 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era tayingiranga n'akatono awali omulambo, era teyeereteranga obutaba mulongoofu, ne bwe kibanga ku lwa kitaawe wadde nnyina, aleme kwonooneka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taasembererenga mulambo gwonna, wadde ogwa kitaawe oba ogwa nnyina,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyeefuulenga atali mulongoofu, wadde okujaajaamya Ekifo kyange Ekitukuvu, ng'akivaamu n'ayingira ennyumba erimu omulambo, ne bwe guba ogwa kitaawe oba ogwa nnyina, kubanga yanjawulirwa nze Katonda we, ng'afukibwako omuzigo omutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so tayingiranga eri omulambo gwonna, so teyeeyonoonanga olwa kitaawe, newakubadde olwa nnyina;