Leviticus 21:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era tavanga mu Kitukuvu kya Katonda, aleme kukijaajaamya, kubanga yatukuzibwa n'omuzigo gwa Katonda ogusiiga. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’ekifo kya Mukama ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so talekanga mirimu gy'awatukuvu olw'abafu, kubanga yafukibwako amafuta amatukuvu aga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwako aga Katonda wegali ku ye: nze Mukama.