Leviticus 21:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tawasanga nnamwandu oba oyo eyagobebwa ewa bba, oba eyeegwagwawaza n'obwamalaaya. Wabula omuwala embeerera ow'omu kika kye gw'awasanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tawasanga nnamwandu, oba eyagobebwa bba, oba eyagwagwawazibwa, oba omwenzi, wabula awasanga omuwala ow'omu bantu be, atannamanya musajja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
sso si nnamwandu, oba omukazi eyaliko malaaya, wadde eyagobwa bba. Omukazi embeerera ow'omu bantu be, gw'anaawasanga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga.