Leviticus 21:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga buli yenna aliko enkeka taasemberenga: omuzibe w'amaaso, omulema, omusale w'ennyindo, omugongobavu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna anaabangako obulema: omuzibe w'amaaso, awenyera, eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekikyamu ku mubiri gwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli aliko akamogo konna, taasemberenga kuweereza: muzibe, oba awenyera oba eyalemala, oba aliko awakyamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli muntu yenna anaabangako obulema tasemberanga: omuzibe w'amaaso oba awenyera oba eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekisukkirira,