Leviticus 21:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ow'ebbango, nnakalanga, ow'ensenke, alina olukuku, omubootongo, oba ow'enjagi ezaayatika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ow'ebbango, omutuutuuli, aliko obulema ku liiso, alina obuwere, omubootongo, oba eyayatika enjagi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ow'ebbango, nnakalanga, oba aliko akamogo ku liiso lye, oba alina endwadde ey'olususu, oba omulaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba alina ebbango, oba mututuuli, oba aliko obulema ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatika enjagi;