Leviticus 21:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye olw'enkeka emuliko, tasemberanga awali olutimbe, wadde ku mwaliiro, n'ajaajaamya ekifo kyange ekitukuvu, kubanga nze Mukama abitukuza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka olw'okuba ng'aliko akamogo, taayingirenga awali olutimbe olutukuvu, era taasembererenga alutaari, alemenga kuvumaganya ebitukuvu, kubanga nze Mukama abitukuza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukuzaawo.