Leviticus 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mwannyina atannafumbirwa kubanga ono akyali mu bulabirizi bwe. Ku lwa bano anaamalanga gaganya n'ataba mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'olwa mwannyina atamanyanga musajja, amuli okumpi mu luganda, atalina bba, olw'oyo ayinza okweyonoona.