Leviticus 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babeeranga batukuvu eri Katonda waabwe, era tebayonoonanga linnya lye, kubanga bawongera Omukama ebitambiro n'omuliro, ekyokulya kya Katonda waabwe; awo nno babeeranga batukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe; kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe; kyebanaavanga babeera abatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaabeeranga batukuvu eri Katonda waabwe, era tebaavumaganyenga linnya lya Katonda waabwe, kubanga bawaayo eri Mukama ebiweebwayo ebyokebwa, by'ebyokulya ebya Katonda waabwe. Kyebanaavanga baba abatukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe: kyebanaavanga babeera abatukuvu.