Leviticus 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bakabona tebawasanga abakazi aboonoonefu bamalaaya oba abaagobwa ewa babbaabwe, kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona tawasanga mukazi mwezi, oba eyagwagwawazibwa, oba eyagobebwa bba; kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabona taawasenga mukazi eyakolako obwamalaaya, oba omukazi atali mbeerera, wadde eyagobebwa bba, kubanga kabona yayawulirwa Katonda we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebawasanga mukazi mwenzi,oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we.