Leviticus 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kabona omutwalanga nga mutukuvu kubanga aweereza ekyokulya kya Katonda wo. Mutwale nga mutukuvu kubanga nange Omukama abatukuza ndi mutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo; anaabanga mutukuvu gy'oli; kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale munaamwawuliranga Katonda, kubanga awaayo eri Katonda wammwe ekitone eky'ebyokulya. Munaamubalanga nga mutukuvu, kubanga nze Mukama abatukuza mmwe, ndi mutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: anaabanga mutukuvu gy'oli: kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.