Leviticus 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Muwala wa kabona bwe yeegwagwawazanga n'akola obwamalaaya, abeera ayonoonye erinnya lya kitaawe; ayokebwanga muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe; anaayokebwanga omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era muwala wa kabona bwe yeeyonoona nga yeefuula malaaya, aswaza kitaawe. Anaayokebwanga omuliro n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro.