Leviticus 22:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omuntu owa bulijjo talyanga ku biwonge ebitukuvu, ne bw'abanga musenze wa kabona oba mupakasi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu, wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Atali wa lulyo lwa bakabona taalyenga ku bitukuvu. Wadde omugenyi akyalidde kabona, oba omukozi we gw'asasula empeera, taabiryengako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewabangawo mugenyi anaalyanga ku kintu ekitukuvu: omuyise ali ne kabona, oba omusenze akolera empeera, talyanga ku kintu ekitukuvu.