Leviticus 22:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabona bw'abanga aguze omuddu ne ssente, oba ng'omuddu yazaalibwa awo mu maka ge, omuddu oyo ayinza okubiryako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuddu kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abazaaliddwa mu nnyumba ye, bo banaalyanga ku mmere ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omuddu, kabona gw'aguze n'ensimbi ze, n'abo abazaalirwa mu maka ge, abo banaalyanga ku mmere ya kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kabona bw'anaagulanga obulamu bwonna, agulibwa n'ebintu bye, oyo anaalyangako; n'abo abazaalirwa mu nnyumba ye, abo banaalyanga ku mugaati gwe.