Leviticus 22:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu oba omugobe ewa bba, nga talina baana, abeera ewa kitaawe nga bwe yali mu buvubuka bwe, ayinza okulya ku mmere ya kitaawe. Omulala yenna owa bulijjo takkirizibwa kulyako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe; naye atali mu lulyo lwa bakabona taagiryengako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye muwala wa kabona nga nnamwandu oba ng'agobeddwa bba, nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yali mu buto, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Naye atali wa mu lulyo lwa bakabona, taagiryengako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga mu buto bwe, anaalyanga ku mugaati gwa kitaawe: naye tewabangawo mugenyi anaalyanga ku gwo.