Leviticus 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli bw'alyanga ku biwonge ebitukuvu nga tategedde, anaaliwanga olw'ekitukuvu ky'alidde n'agattangako ekyokutaano kyakyo, n'abiwa kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu atali mu lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, kale anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'agattako n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu atali wa lulyo lwa bakabona bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tagenderedde, anaddizangawo kabona ekintu ekyo ekitukuvu, n'ayongeramu n'ekitundu kyakyo kimu ekyokutaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tamanyiridde, kale anaakigattangako ekitundu kyakyo eky'okutaano, n'awa kabona ekintu ekitukuvu.