Leviticus 22:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Aroni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti: “ ‘Singa omu ku mmwe, ow'omu nnyumba ya Yisirayeli, oba omugwira asula mu Yisirayeli, abanga aweerezza ekitambiro ekyokye mu maaso g'Omukama olw'okutuukiriza obweyamo, oba ng'ekitambiro ekyeyagalire,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera ne Alooni ne batabani be, n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti buli mu Isiraeri yenna, oba munnaggwanga ali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone kye eky'obweyamo oba ekyo ky'awaayo nga yeeyagalidde, okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tegeeza Arooni ne batabani be n'Abayisirayeli bonna nti Omuyisirayeli, oba omugwira ali mu Yisirayeli, bw'anaaleetanga eri Mukama ekitone kye ekyokebwa kye yeeyama, oba ky'awaayo nga yeeyagalidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti Buli muntu yenna ow'oku nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone lye, bwe kinaabanga obweyamo bwabwe bwonna, oba ekiweebwayo kyonna kye bawaayo ku bwabwe, kye bawaayo eri Mukama okuba ekiweebwayo ekyokebwa;