Leviticus 22:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Aroni ne batabani be basse ekitiibwa mu bitukuvu Abayisirayeli bye bampongera, bwe batyo baleme kwonoona linnya lyange. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba Alooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu abaana ba Isiraeri bye bawaayo gyendi; balemenga okuvumaganyisa erinnya lyange ettukuvu: Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tegeeza Arooni ne batabani be, bassengamu ekitiibwa ebintu ebitukuvu, Abayisirayeli bye bantonera, balemenga okuvumaganya erinnya lyange ettukuvu. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba Alooni ne batabani be, beewalenga ebintu ebitukuvu eby'abaana ba Isiraeri, bye batukuza gye ndi, era balemenga okuvumisa erinnya lyange ettukuvu: nze Mukama.