Leviticus 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temuweerezanga kyonna kiriko nkeka, kubanga tekijja kusiimibwa ku lwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo; kubanga tekikkirizibwenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuuwengayo kintu na kimu ekiriko akamogo, kubanga ekitone kyammwe ekyo tekikkirizibwenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo: kubanga tekiibenga kya kukkirizibwa ku lwammwe.