Leviticus 22:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temuweerezanga Mukama kisolo kyonna ng'enjagi zaakyo zizimbye, oba nga zaabetentebwa, oba nga zayasibwa, oba nga zaggyibwamu, oba nga zaasalibwako; era mu nsi yammwe ekyo temukikolanga n'akamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyabetentebwa, eyanyigibwa, eyayatika, oba eyasalibwako enjagi zaayo, eyo temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuuwengayo eri Mukama, ensolo eyabetentebwa, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ebibeere byayo. Ekyo temuukikolenga mu nsi yammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyabetentebwa enjagi zaayo, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ezo, temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe.