Leviticus 22:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ente, endiga oba embuzi bw'ezaalibwanga, ebeeranga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu; okutandika n'olwomunaana enekkirizibwanga ng'ekitone ekiwongere Omukama n'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo eneekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ente, oba endiga, oba embuzi, bw'eneezaalibwanga, eneerekebwanga n'eyonka nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw'omunaana n'okusingawo, enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okukirawo enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.