Leviticus 22:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe mutambiriranga Omukama ekitambiro eky'okwebaza, mukitambiranga nga kisobola okusiimibwa ku lwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo nga mugoberera amateeka, mulyoke mukkirizibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muwangayo ekitambiro eri Mukama okumwebaza, munaakiwangayo nga mutuukiriza amateeka, mulyoke mukkirizibwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.