Leviticus 22:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bagambe nti: “ ‘Mu mazadde gammwe gonna omuntu yenna asemberanga nga si mulongoofu eri ebitukuvu Abayisirayeli bye bawongedde Omukama, anaakutulwanga mu maaso gange. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagambe nti, Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye bawaayo eri Mukama, nga si mulongoofu, anaaboolebwanga mu maaso gange: Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bategeeze nti mu mirembe gyonna, buli wa mu zadde lyabwe atali mulongoofu anaasembereranga ebitukuvu Abayisirayeli bye bantonera, oyo taddengayo kujja mu maaso gange. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagambe nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye batukuza eri Mukama, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu maaso gange: nze Mukama.