Leviticus 22:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temwonoonanga linnya lyange ttukuvu, Abayisirayeli balyoke bategeere nga ndi mutukuvu. Nze Omukama abatukuza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So temuvumaganyanga linnya lyange ettukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri bonna: Nze Mukama abatukuza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuuvumaganyenga linnya lyange ettukuvu, naye njagala Abayisirayeli bonna baatulenga nga bwe ndi omutukuvu. Nze Mukama abafuula abatukuvu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temuvumisanga linnya lyange ttukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri: nze Mukama abatukuza,