Leviticus 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ow'omu zzadde lya Aroni, nga mugenge, oba alina okukulukuta kw'amazzi, talyanga ku biwonge ebitukuvu, okutuusa ng'amaze okulongoosebwa. Bw'akwatanga ku kintu ekyonoonese olw'okukoona ku mulambo oba ku musajja afulumizza amazzi ag'ekisajja, taabenga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni alwadde ebigenge oba enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa ng'alongooseddwa. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu bw'anaakomanga ku kintu ekifudde, oba ku musajja avuddemu amaanyi ag'ekisajja;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tewaabengawo n'omu wa mu zadde lya Arooni alwadde ebigenge oba alina enziku, anaalyanga ku bintu ebitukuvu, okutuusa lw'anaabeeranga omulongoofu. Era kabona anaafuukanga atali mulongoofu, bw'anaakoonanga ku kintu ekifuuse ekitali kirongoofu olw'okukoona ku kifudde, oba ku musajja avuddemu amazzi ag'obusajja,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni aliko ebigenge oba alina enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw'aliba omulongoofu. Era buli anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu olw'abafu, oba omuntu avaamu amaanyi;