Leviticus 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era taabenga mulongoofu bw'alikwata ku kyewalula ekimufuula atali mulongoofu oba ku muntu atali mulongoofu, obutali bulongoofu bwe bubeere bwa ki oba ki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba bw'anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba bw'anaakomanga ku muntu yenna atali mulongoofu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba bw'anaakoonanga ku kyewalula ekimufuula atali mulongoofu, oba ku muntu amufuula atali mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba buli anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, obutali bulongoofu bwonna bwaliko;