Leviticus 22:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akwatanga ku bintu ng'ebyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi, era talyenga ku biwonge ebitukuvu, okuggyako ng'amaze kunaaba mubiri n'amazzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona oyo anaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mutukuvu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri gwe n'amazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kabona afuuka atali mulongoofu, asigala si mulongoofu okutuusa akawungeezi, era taalyenga ku bitukuvu, wabula ng'amaze okunaaba omubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obulamu obwo obunaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'anaabye omubiri gwe mu mazzi.