Leviticus 22:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ennyama eya kalannamye n'ey'ebitaaguju tagiryanga, sikulwa ng'afuuka atali mulongoofu olwa ebyo. Nze Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyama y'ensolo efudde yokka oba etaaguddwataaguddwa ensolo ey'omu nsiko, tagiryangako okufuuka atali mulongoofu: Nze Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Taalyenga nnyama ya nsolo efudde yokka, oba ettiddwa ensolo enkambwe, alemenga kwefuula atali mulongoofu. Nze Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekinaafanga kyokka, oba ekinaataagulwataagulwanga ensolo, talyangako okweyonoona nakyo: nze Mukama.