Leviticus 22:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bakabona bakwatanga kye nakuutira baleme kubeera na musango, ne bafa olw'okukyonoona. Nze Mukama abatukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga okwonoona, ne bafa olw'okubinyoomoola: Nze Mukama abatukuza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bakabona bonna banaakuumanga bye mbalagira, balemenga kwonoona ne bafa olw'okubinyoomoola. Nze Mukama abafuula abatukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebanaavanga beekuuma kye nnabateresa, balemenga okubaako ekibi olw'ekyo, ne bafiira mu kyo bwe banaakivumisanga: nze ndi Mukama abatukuza.