Leviticus 23:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: ‘Bwe muyingiranga mu nsi gye ndibawa, ne mukungula ku bibala byayo, omuganda gw'ebirimba by'eŋŋano bye musookanga okukungula muguleeteranga kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, muleetanga ekinywa eky'ebibereberye eri kabona;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ayogere n'Abayisirayeli, abagambe nti: “Bwe mulituuka mu nsi Mukama gy'abawa, ne mukungula eŋŋaano, ekinywa ekisooka, mukitwalanga wa kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, ne mulyokanga muleeta ekinywa eky'ebibereberye eby'ebikungulwa byammwe eri kabona: