Leviticus 23:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anaaguwuubanga mu maaso g'Omukama gulyoke gusiimibwe ku lwammwe. Kabona aguwuubanga ku lunaku oluddirira Sabbaato.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, kiryoke kikkirizibwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaakiwangayo ng'akiwuuba mu maaso ga Mukama, ekitone kyammwe ekyo ne kikkirizibwa. Kabona anaakiwangayo ku lunaku oluddirira Sabbaato.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, okukkirizibwa ku lwammwe: ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti kabona kw'anaakiwuubirawuubiranga.